Numbers 1

Okubala Abantu

1 aAwo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri
Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi
. N’amugamba nti:
2 c“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 3 dGgwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 4 eMunaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.

5 f“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 gmu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 hmu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 imu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 jOkuva mu baana ba Yusufu:
mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 kmu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 lmu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 mmu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 nmu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

16 oAbo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Ebika n’obunene bwabyo

17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 pne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:

20 qAb’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
21Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).

22 rAb’omu bazzukulu ba Simyoni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
23Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

24 sAb’omu bazzukulu ba Gaadi:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali.
25Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

26 tAb’omu bazzukulu ba Yuda:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
27Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

28 uAb’omu bazzukulu ba Isakaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
29Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

30 vAb’omu bazzukulu ba Zebbulooni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
31Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

32 wOkuva mu batabani ba Yusufu:
Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
33Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
34 xAb’omu bazzukulu ba Manase:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
35Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

36 yAb’omu bazzukulu ba Benyamini:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
37Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

38 zAb’omu bazzukulu ba Ddaani:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
39Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

40 aaAb’omu bazzukulu ba Aseri:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
41Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

42 abAb’omu bazzukulu ba Nafutaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
43Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

44 acAbo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 adObungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Abaleevi bo Tebaabalibwa

47 aeAbazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49“Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 afEra n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 agEweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 ahAbaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 aiNaye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

54Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Copyright information for LugEEEE